Banaddiini e Mukono benyamidde olwa abayizi ba’obuwala abatwala obuweke bwakizaala gumba mu massomero.

Students

Banaddiini e Mukono benyamidde olwa abayizi ba’obuwala  abatwala obuweke bwakizaala gumba mu massomero.Omusumba atwala obusumba bwe Nsambwe mu bulabirizi bwe Mukono Rev Edward Muyomba Ssenyonga avuddeyo nalaga okutya olw’abayizi ab’obuwala abagufudde omugaano gw’okutwala empeke z’akizaala ngumba ku massomero ekintu kyagambye nti kyabulabe nnyo nga kiviriddeko abakyala bangi okubeera abagumba.

Bino musumba Muyomba abyogeredde ku Ssomero lye yaliko omubaka wa Mukono South mu lukiiko lweggwanga olukulu era nga mu kiseera kye kimu yaliko ssentebe wa kabondo ka babaka abava mu Buganda Johnson Muyanja Ssenyongo elya St Johns SSS Namuyenje elisangimbwa mu ggombolola ye Nakisunga mu  district ye Mukono mu kusaba kw’okwebaza Katonda olw’okusobozesa abayizi baabwe abatuula siinya ey’okuuna omwaka oguwedde okuyita obulungi ebigezo nga banno bafuna first grade 63.

Muyomba agamba nti abayizi kati bagufudde mugaano nga banda ku massomero okukuza empeke zino ate abalenzi bo nebadde mukukusa emyenge,ebitamiza ebirala saako n’amassimu, era ono yenyamidde olwabaana abami ate ebigezo bigenda okudda ng’abamu bali mbuto, balwadde ate nga n’abamu bafudde nga kino akitadde kunsi kubataguula.

Ono agenze mu maaso nakukulumira abayizi abakakana ku ziuniform ze ssomero nebazisala ng’ono agamba nti banno benyini bebaviriddeko n’ebikemo ate okweyongera , nabasaba okwekuba mu kifuba kubanga byebakola tebiyamba bazadde baabwe wabula biyamba bo, era nga basanidde okumanya kiki kyebali nawa gyebava nga bewala okuvuganya.

Ye omutandiisi w’essomero lino Johnson Muyanja Ssenyonga  alaze okutya olw’amassomero agakungira bayizi babeera tebafunye bubonero bulungi obutabagoba kuba basobolera ddala okukyukira ddala, kubanga bazadde balina ennaku nyini gyebabeera, era wanno abayizi ababiri basinze abawadde basaale nga bakusomera bwerere saako n’okuwebwa buli kimu nga tewali kyebakwatako.

Henry Ssentongo Nsaale nga yakulira essomero lino asimye Katonda  olw’abayizi okukola obulungi, era balaga okusomoze kwebakyalimu n’essoma empya gyagambye nti  bakyasobeddwa olwebigezo byebagenda okuuwa abayizi.

Bo abayizi abasinze banabwe mu ssomero lino okuli Mugumya Hands Paul saako ne Derrick Mubiru batunyonyodde ebyebayambye okuyita saako n’okusomoza kwebasaga naddala bwebali nga bakava mu biseera by’omugalo gwebagambye nti gwabakosa nnyo wamu n’okubulwa ebikozesebwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *